Become a KPR member, and enjoy cheaper prices immediately. Register here.
Okuva mu mwezi gw'omwenda mu 2007, kati osobola okufuuka memba newankubade nga tosobola kwogera lulimi lu Slovaki. |
Mu mwaka gwa 2000, twatandikawo ekibiina kyaffe mu Luslovaki. Okuva olwo tufunye ba memba bangi abatweyungako nadala okuva mu Slovakiya ne Bucheki. |
Kati osobola okunyumirwa emiganyulo gyona egy'obwamemba mu KPR Slovakia – si nsonga gwe ani oba lulimi ki lw'oyogera. |
Twaniriza omuntu yenna okuva mu buli nsonda ya nsi kasita abera nga ayagala ebirime. Tweyungeko kati! |
Eky'omukisa omubi waliwo obuzibu bumu obukyaliwo: Tojja kusobola kusoma mawulire gaffe ag'ekibiina mu Botanix, bwoba tosobola kutegera olumu ku nnimi Botanix mwewandikibwa. |
Ku ludda olulala, Lwaki totandika kuwandika Mawulire mu lulimi lwo? Kwatagana n'abalimi abalala bwe mwogera olulimi olumu, olwo mutandike okuwandika oba okukungaanya amawulire ebikwata mu kulima, ebirime n'ebirala bingi olwo mutandikewo Botanix eyamwe mu lulimi lwamwe! |
Tewali bukwakulizo mu ky'okwesanyusa! |
Ate ekirala, obubaka obutekebwako abalimi b'omu Slovakiya tebusobola kuyamba balimi bali mu bitundu bya tropiko oba ebya tropiko okuyamba abali mu Slovakiya, n'olwekyo okukyusa mu lulimi lwa Botanix kyetagisa nnyo. |
Lwaki olina okufuuka memba wa KPR?
1. Ba memba ba KPR basobola okussaamu okusaba kwabwe ku bbeyi aya wansi. Laba ebimu ku by'okulabirako wansi (tewali kkomo ku by'olina okusaba).
Ebeeyi ya ba memba ba KPR | Ebeeyi y’abatali ba memba | Okusalibwako % |
0,50 € | 0,70 € | 29% |
0,70 € | 0,90 € | 22% |
1,00 € | 1,50 € | 33% |
3 € | 4 € | 25% |
2. Buli memba wa KPR asobola okulonda sampolo z'ensigo buli mwaka (okujjako ebinazi, ensigo cycads n'ebika by'ensigo ebirondedwamu) okuva mu materekero ga KPR. Ba memba era basalibwako 50% ku zi sampolo endala zonna. (Ebbeyi eyabulijjo eri Euro 1 buli sampolo ate nga eya ba memba eri Euro 0.50 zokka.)
3. Okusaba kwa ba memba ba KPR kukolebwako nga okw'abatali ba memba tekunakolebwako.
4. Ba memba baweebwa amagezi ga bwerere ku nnima mu nimi 11 mu mwaka.
5. Osobola okukozesa enkola ya Open Akawunta
Open Akawunta - Ebikwata ku nkola ya open Akawunta. |
Open Akawunta y'engeri esinga okubera ennungi mu kugula ebintu bya KPR. Otuwereza sente nga tonasaamu kusaba kwo, olwo bw'oteekamu okusaba sente eziri ku akawunta eno zetukozesa okusasulira eby'abaguzi byo. Kino kitegeza tetulina kulindirira lw'onosasula oukuwereza eby'amaguzi byo n'olwekyo tubikusindikira bunambiro. Osobola okwongera ensimbi ku akawunta yo ekisera kyona nga okozesa ngeri yona ey'okuwerezamu sente. |
Akaseera kona woyagalira okwongerera sente ku Open akawunta, wandiika mu enamba yo tusobole okumanya ekigendererwa kyo lwaki owereza sente. Olwo tuja kuteeka sente ku akawunta yo mangu dala nga twakafuna sente okuva gy'oli. Tewali kkomo ku nsimbi z'olina okuteeka ku akawunta eno. Ensimbi ezibeera zisigade ku Open Akawunta yo osobola okuzikozesa mangu dala nga oyongedeko sente ezimala. |
Bw'oba oyagala okukozesa ensimbi eziri ku Open Akawunta yo, tutegeze nga owereza obubaka buno: "Okusaba kwange kujja kusasulwa nga nkozesa Open Akawunta namba yange XXXXXXX" Okusaba kwo kuja kokolebwako mangu dala era ebintu byo biwerezebwe mangu dala nga byakapakirwa. |
Osobola okusaba ensimbi ezisigade ku Open akawunta yo zikudizibwe. Wabula jukira nti waliwo akasente akajja okukujibwako ku sente ezinaabera zikudizibwa. Tewali nsimbi zikujibwako bw'oba okozesa PayPal; ate ekkomo lya sente ezikujjibwako nga tukudiza sente mu moneybookers.com ziri Euro 0.50. Tewali nsimbi zikusalibwako okukudiza sente mu slovakiya ne Chechiniya. Tutukirire okumanya ebisingawo ku bisale ebisalibwa ku nsimbi eziwerebwa mu nsi endala. Tujja kukuddiza ensimbi eziri ku Open akawunta yo mu nakku 60 oluvanyuma lw'okufuna okusaba kwo. |
Jukira: Okukozesa Open akawunta kikuyamba obutasasula bisale bikusalibwako nga owereza sente. Ky'olina okukola kwekuwereza sente ku Open Akawunta yo omulundi gumu olwo n'osasulira nga okwo ebyamaguzi byo buli lw'oyagala okugula. |
Olina ekibuzo? |
6. Okusaba kwo mu mwaka gwa 2010 bwekussuka Euro 80, osobola okusaba ensigo oba ebirime ebirala ebiweza Euro 10 ga bya bwerere!
7. Akalulu ka buli mwaka ku beeyi ya euro 50, 30, ne 15 ng'ogula ebintu ku bwerere!
...n'emiganyulo emirala mingi gyetuja okugenda nga tukubuulira.
1. Olina okujuza Foomu y'obwamemba era osasule obwa memba buli mwaka ku euro 10 buli m waka nga 31 ogw'okutaano tegunatuuka buli mwaka. Sente zino z'obwa memba ziyamba mu kutumbula mirimu gya KPR mu nsi yonna.
Ensimbi z'obwa memba mu 2010
(Obwa memba buva nga 1.10.2009 okutuusa nga 31.12.2010)
Okusasulira obwa memba buli mwaka | Omwaka ogusooka | Okuza obugya omwaka oguddako |
10 Euro | 5 Euro |
2. Ojja kussangamu okusaba okutakka wansi wa mirundi 2 buli mwaka okuva mu kugaba kw'ekibiina. Tewali kkomo mu kusaba kwo.
3. Osobola n'okusasula ensimbi nga tolina ky'ogula nga kw'otade okusasulira obwa memba okusobola okukulakulanya ebibiina bya KPR mu nsi yonna.
Oyagal okufuuka memba wa KPR? Kyangu nnyo! Tweyungeko kati. Juza fomu y'obwamemba eno.